Government eragidde ekitongole ekirungamya abawola ensimbi ekya Uganda MicroFinance Regulatory Authority, obutazza buggya ndagaano za ba money lender bonna mu ggwanga, olwemivuyo egyetobese mu mulimu gwabwe. Minister Omubeezi owa MicroFinance...
Abakulembeze n'Abalunzi mu district ye Lyantonde, beraliikirivu olw'ekirwadde kya Kalusu ekibaluseewo mu magombolola agawerako, era n'obutale bw'ebisolo bugaddwawo. Dr. Ronald Bameka akulira ekitongole ky'obulunzi mu district ye Lyantonde, agambye nti...
Olukungaana lw'amawanga ga Africa olukwata ku kampuni ezivunaanyizibwa ku mbuuka z'ennyonyi mu Africa, olwatuumiddwa AFRAA General Assembly, lutandise ku speak Resort e Munyonyo, ng'essira liteekeddwa kukubiriza abakyala okwongera okwenyigira mu...
Ekitongole ekikola ku by'enteebereza y'obudde ki Uganda National Meteorological Authority kigamba nti enkuba ebadde etonnya Emyaka egiyise enseenene zibadde zitandika okugwa ku nkomerere ya October (Mukulukusabitungotungo) nezinyinyiitira mu mwezi gwa...
Government ya Uganda egumizza bannauganda abatwala eby'amaguzi byabwe mu America okusigala nga bagumu, wadde nga America erangiridde nga bweteekateeka okubagoba mu katale ka AGOA omwegattira amawanga ga Africa agatwala ebyamaguzi...
Government ya Uganda essazeewo okutandika okwenyigira mu mulimu gw'okusuubula amafuta okugaleeta mu ggwanga. Olukiiko lwa baminister( cabinet) lulagidde Minister avunaanyizibwa ku by'amasanyalaze n'obugagga obw'ensibo Ruth Nankabirwa Ssentamu,okutwala ennoongosereza mu Parliament...
Bannauganda bannekolera gyange bajjumbidde okweterekera ensimbi mu kitongole ky'abakozi ekya National Social Security Fund NSSF baweze emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lunaana (22.8k). NSSF yasaawo enkola eya buli muntu...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven asisinkanyeemu bamusiga nsimbi okuva e Poland banyini kampuni ya Prometheus, abagala okutandika okukolera mu Uganda obummotoka obutono kika kya Drone obusobola okukozesebwa emirimu egyenjawulo....