Police mu district ye Wakiso ng'eri wamu n’abakulembeze ku kyalo Kigoogwa ku luguudo lwe Bombo, bamalirizza okufuna olukalala lw’amannya g’abantu b'ekitundu abaafiiridde mu muliro ogwakutte emmotoka y'amafuta, kibayambeko okumanya omuwendo...
Parliament eyisizza ennoongosereza mu tteeka erirungamya ebibira n'okusimba emiti erya The National Tree Planting amendment bill 2024, n'eggyawo ekitongole ky'eggwanga ekivunaanyizibwa ku bibira mu ggwanga ki National Forestry Authority. Obuvunanyizibwa...
Government ya Uganda eyongedde okumyumyula etteeka erikugira abawozi ba ssente okubowa endagamuntu zabanna Uganda ababeewolako ssente. Mu alipoota eyanjuddwa eri parliament, minister omubeezi ow’ensonga ez’omunda Gen David Muhoozi ekakasizza nti...
Police yakazuula emirambo 11 egy'abantu abafiiridde mu muliro ogukutte emmotoka y'amafuta ku kyalo Kigoogwa e Matugga, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo. Abantu abalala abasoba mu 10 nabo...
Abantu abatannamanyika muwendo bafiiridde mu nnabbambula w'omuliro akutte essundiro ly'amafuta e Matugga. Omuliro guno gukutte mu kitundu ekiyitibwa Kigoogwa ku stage ya Kaddu, mile 16 ku luguudo oluva e Kampala...
Abatuuze ku kyalo Kawangire mu muluka gwe Kiddokolo mu District ye Ssembabule banunudde omwana omuyizi abadde awambiddwa abasajja 2, n'ekigendererwa ekitanategerekeka. Omwana abadde awambiddwa ye Annet Natukunda myaka 7 asoma...
Omukago ogulwanirira eby'obuwangwa n'ennono mu Africa ogwa AIDO network International gusabye abakulembeze mu kkaddiyizo lya Bungereza ne mu matendekero agenjawulo, bakole ku nteekateeka eddiza abakulembeze bÉnnono ebintu ebyÓmuwendo byonna...
Emikolo gy'okujaguza emyaka 60 bukyanga abajulizi ba Uganda balaangirirwa mu lubu lw'abatuukirivu gitegekeddwa ku kereziya ya St. Peter's Basilica e Vatican. Gikulembeddwamu Peter Cardinal Turkson, nga kati ye Chancellor w'ettendekero...