Police mu Kampala n’emiriraano eri etandise okunoonyereza ku bubbi bw’ensimbi akawumbi ka shilling kamu n’Obukadde 69, obwakolebwa abagambibwa okubeera abakozi ba kampuni ya G4S Obubbi bwaliwo nga 19 November,2024. Kigambibwa...
Abasonyiyiddwa bawagizi b'ekibiina kya NUP ababadde bakamala mu kkomera emyaka 3 n'emyezi 8 ku alimanda, nga bavunaanibwa emisango gy'okusangibwa n'ebintu by'amagye ate nga ssibamagye. Mu October,2024 baakkiriza emisango egyali gibavunaanibwa...
Abantu babiri bakubiddwa amasasi e Kiwaatule mu gombolola ye Nakawa mu kibuga Kampala, nga Ssabbiiti Barnabas abadde omugoba wa bodaboda afiiriddewo ate Albert Cook Tugume owa mobile money afudde addusibwa...
Bannakibiina kya FDC ekiwayi kye Katonda, batadde government ya Kenya ku nninga ebannyonyole ku ngeri munnabwe Dr.Kiiza Besigye gyeyawambibwamu e Kenya nakomezebwawo e Uganda nga teyeyagalidde. Besigye yawambibwa ku woteeri...
Eyali president wa FDC nga kati y'omu ku bakulembeze b'ekiwayi kya Katonga road Rtd. Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y'amagye e Makindye, naggulibwako emisango 4 gy'okugezaako okusekeeterera government n'okutabangula emirembe....
Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gwobwa president aka State House Anti-Corruption Unit kakutte omumyuka w'omubaka wa president mu district ye Rukiga Majambere Ivan Kamuntu Ssemakula,ku bigambibwa nti abadde yenyigira...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ayagala Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okutangira abantu ssekinnoomu okweyimirirwa, singa bakwatibwa mu by'okubba n'okubulankanya ssente okuva mu nteekateeka za government eze Emyooga ne Parish Development...
Wakyaliwo amatankane ku mayitire ga munnabyabufuzi Rtd Col Dr. Kiiza Besigye, eyakwatiddwa mu Kenya, wabula ng'ensonga ezaamukwasizza tezinategeerekeka. Okusinziira ku mwogezi w'eggye lya UPDF Brig.Felix Kulaigye, Besigye asuubirwa okusimbibwa mu...