Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Bwoga mu gombolola ye Butansi mu district ye Kamuli. Babadde batambulira ku Ppikiki nga bava e Namasagali okudda e Butansi. Ppikipiki eremeredde omugoba...
Police e Nsangi mu Wakiso eriko enunudde abavubuka 47, nga kigambibwa nti babadde bateekateeka kukukusibwa okutwalibwa mu Mawanga gebweru bakube ekyeyo. Abavubuka bano abali wakati w'Emyaka 16 n'emyaka 30, kigambibwa...
Omulamuzi wa kkooti enkulu Joyce Kavuma alamudde nti registrar oba omuwandiisi wébyapa by'ettaka ye yekka alina obuyinza obusazaamu ekyapa kyéttaka, okusinziira ku nnyingo eye 88 eyétteeka lyéttaka, so si biragiro...
Akakiiko k'eggwanga akebyokulonda ka The Electram Commission of Uganda kagala ensimbi ezenyongoreza obuwumbi 502 okutambuza emirimu egikwata ku byokulonda kw'akalulu ka 2026. Ku nsimbi zino, obuwumbi 263 zigenda kukozesebwa okusasula...
Abavubuka babiri batokomokedde mu kabenje ka Mmotoka ku luguudo lwe Busaabala mu Wakiso. Abavubuka basatu babadde mu Mmotoka Mark X namba UBB 378 W ebadde edduka Obuweewo nga eyolekera Gangu,...
Abebyokwerinda mu district y'eKalungu bakutte nebaggalira omuvubuka abadde agambibwa okwefuula omukozi w'ekitongole kya NIRA ng'aggyako abantu ssente e Lwabenge mu district ye Kalungu nti abayambeko okuzza obujja endaga muntu zabwe....
Akakiiko keby`okulonda mu ggwanga ka The Electoral Commission of Uganda kalangiridde omuwendo gwa bannauganda ogwawandiisibwa era ogusuubirwa okwetaba mu kulonda okujja okwa 2026, nga bali obukadde 21,681,491. Abakyala bebasinga obungi,...
Abantu abalala 30 okuli ba Inspector baamasomero mu district ezenjawulo, basimbiddwa mu kooti esookerwako eye Mengo, okuwerennemba n'emisango egyokugezaako okubbirira ebibuuzo. Bano 30 kuliko omu nga ali ku ddaala lyakulira...