Omulabirizi wa West Buganda omujja Bishop Gaster Nsereko atuuziddwa ng'Omulabirizi owomusanvu ow'Obulabirizi buno. Omukolo guyindidde mu kisaawe e Kako mu Buddu. Omulabirizi Nsereko azze mu bigere by'omuwummuze Bishop Henry...
Omwezi omutukuvu ogwa Ramathan 2025 gukomekkerezeddwa. Obubaka obuvudde e Saudi Arabia bulaze nti omwezi gubonese era Eid El-fitir neerangirirwa nti yaankya ku Sunday nga 30 March, 2025. Abaddu ba...
Entambula esannyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana mu kitundu Omugga Mayanja wegusalira, wakati w'ekyalo Buyala ne Buloba. Oluguudo luguddemu ekitundu nga kiteeberezebwa okuba ng'ettaka lyaanafuye oluvannyuma lwannamutikwa...
Eyaliko ssenkulu wa Makerere University Professor Dumba Ssentamu awadde amagezi abayizi abatikkirwa mu matendekero agawaggula obuteetuulako nga balindirira okufuna emirimu gya woofiisi, wabula balowooze ku mikisa egyibeetoolodde nga batandikawo emirimu...
Ekikangabwa n'entiisa bibuutikidde abatuuze be Nabyewanga-Lutukuma mu gombolola ye Kingo mu district y'e Lwengo, abaana 2 bwebajjiiridde mu nnyumba mu kiro ekikeesezza olwaleero nga 28 March,2025. Nnyina w'abaana abadde abalese...
Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola akubye ebirayiro ebimufuula omubaka omujjuvu owa Kawempe North. Abikubidde mu kifo sipiika wa parliament waakyaliza abagenyi ku parliament. Ebirayiro abikubye ku ssaawa 6 ezomuttuntu, era ng'awerekeddwako...
Abaana 2 bafiiridde mu nju mwebabadde, amazzi gabayingidde nebabulwako ayamba, nnyabwe Lenunu Rose abadde akedde kugenda kukola. Kuliko Otim Kisa Eliza wa myaka 3 ne Ochaka Chon myezi 11 egy'obukulu....
Abantu 2 nga bakyala bafiiridde mu kabenje akagudde e Mazuba ku luguudo okuva e Iganga okudda e Mbale mu kiro ekikeesezza olwa nga 26 March,2025. Waliwo abantu abalala 8 baddusidswa...