Government erambise enteekateeka 4 zegenda okusaako essira mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi oguggya 2023/2023. Mulimu okutandika okuzimba oluguudo lwéggaali y'omukka olw'omulembe olumanyiddwa nga standard Gauge Railway oluva e Malaba ku nsalo...
Minister w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi yaddusiddwa kipayoppayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago okuva mu district ye Kanungu. Minister azirikidde ku mukolo gw'okusonda ensimbi ez'okuzimba ekkanisa. Akawungeezi k’eggulo minister...
Aba Nusery basabye emisaala. Abasomesa ba nursery e Namayingo abatandise okutendekebwa bafune degree, bawanjagidde government ebateeke ku nkalala nabo ebawe emisaala egyegasa. Abasomesa abogeddeko n'omusasi waffe e Busoga Kirabira Fred,...
Police ng'eyambibwako eggye lya UPDF eggalidde abajaasi ba UPDF 5 lwakukola ffujjo nebasuula emisanvu gy’amaggwa mu luguudo, ekitaataaganyizza entambula y’ebidduka. Bino bibadde ku kyalo Kakoola mu district ye Wakiso. Abataano...
Entiisa ebuutikidde ekyalo Kasaba mu gombolola ye Nsango district ye Bugiri, omusajja avudde mu mbeera naatematema abolugandalwe basatu n'abatta, naye abatuuze nebamumiza omusu. Mohamed Mukoli 50, kigambibwa nti aludde ng'alina...
Abantu 16 bafiiridde mu kabenje nábalala abatannamanyika muwendo mutuufu basigadde nébisago eby'amaanyi. Akabenje ddekabusa kagudde mu Kabuga ka Adebe KonaKamdin mu district ye Oyam , ku luguudo oluva e Kampala...
Eklezia Katulika mu Uganda yeegasse ku nsi yonna okusoma Emmisa entongole okukungubagira Ppaapa Emeritus Benedict XVI eyafa ku nkomerero y’omwaka oguwedde ku myaka 95. Ppaapa Benedict aziikiddwa olwaleero nga 5...