Obwakabaka bwa Buganda buweereddwa engule mu lukuŋŋaana ttabamiruka olw’Obweggasi mu Uganda olubadde e Masaka.
Engule ekwasiddwa omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ng’esiima Obwakabaka, olw’okuwagira ennyo enkulaakulana y’Obweggasi mu Uganda.
Olukuŋŋaana luno lukulembeddemu olunaku olw’Obweggasi mu Uganda, olukuziddwa nga 20/07/2024 e Kibinge, Bukomansimbi.
Olunaku lw’obwegassi lutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Obweggasi mu kuzimba ebiseera by’omumaaso eby’abantu bonna.”
Owek. Nsibirwa, Omuwanika wa Buganda ku mukolo guno akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga era yagguddewo ttabamiruka eyategekeddwa Minisitule y’Ebyamakolero n’Obweggasi mu Uganda, n’akubiriza abantu ba Buganda okujjumbira Obweggasi kibayambeko okwekulaakulanya.
“Tosobola kuva mu bwavu, okuggyako ng’oli mu katale k’ebyensimbi” Oweek. Nsibirwa.
Agambye nti Obwakabaka butadde amaanyi mu kukubiriza abantu okwettanira obwegassi basobole okukolera awamu, okutereka, okusiga ensimbi, okugaziya emirimu gyabwe n’obutale nga bayita mu bibiina byabwe.
Agamba nti waliwo ebirabwako mu kaweefube ono, nga kati ku Masaza 18 aga Buganda, mwenda (9) ku ggo waliyo ebibiina bya CBS PEWOSA.
Owek Nsibirwa asabye government obutateeka misolo ku bibiina bya bwegassi kubanga kitta omutima gwa bannakibiina abatereka, ate okusanga n’ensimbi zaabwe zikendeera olw’emisolo, bwatyo n’asaba emisolo gisigale ku bintu ebyo abantu bye bagula ng’amafuta, bbiya, sukaali n’ebirala.
Akubirizza government nti enkola zaayo ez’okuggya abantu mu bwavu nga Emyooga n’endala, ensimbi ziyisibwe mu bibiina by’Obweggasi kubanga bibeera n’enkola ennuŋŋamu ezituusa obuweereza obulungi ku bantu.
Oweek. Nsibirwa akubirizza abeegassi okukubiriza n’okwagazisa abantu abalala obweggasi, n’asaba n’ebibiina okubangawo enkolagana mu bbyo, okusobola okuwaŋŋana amagezi nga biwuliziganya n’okuwabulagana ku nsonga ez’enjawulo.
Asabye government okuteeka ssente mu bitongole ebivunaanyizibwa ku kuluŋŋamya ebibiina by’obweggasi nga ekya Uganda Cooperatives Association, olwo bisobole okutuusa emisomo ku bantu ne kubakulira ebibiina ku ngeri ennuŋŋamu ey’okukwatamu emirimu.#