Ekirwadde kya Marburg, ekyazuliddwa ku mulirwano mu Tanzania ekyakatta abantu 8 munnaku 3 zokka, kitadde ku bunkenke amawanga agg’omuliraano.
Ministry y’ebyobulamu n’ekitongole kya National Public Health Laboratory mu ggwanga lya Tanzania, baalangiridde okubalukawo kw’ekirwadde kya Marburg, era nti okuva lwekyazuulibwa nga 14 January,2025 , abantu 9 bebakazuulibwamu ekirwadde ate 8 bafudde.
Marburg bulwadde obuva ku bisolo, wabula bwebukwata omuntu bumuviirako okuvaamu omusaayi omungi, essujja ery’amaanyi, okubobbebwa omutwe n’obubonero obulala.
Marburg bulwadde obulina obubonero obwefananyirizaako ne Ebola, era nga kigambibwa nti businga kuva ku kulya nnyama y’ebisolo by’omunsiko, obuwundo nebirala.
Minister w’ebyobulamu mu Uganda, Dr. Jane Ruth Acenge Ocero, asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire mu Kampala, naalabula banna Uganda abali mu district ezirinanye Tanzania okuba kubwerinde, singa balaba omuntu yenna alina obubonero obwo obutayingiza kirwadde mu Uganda.
Aceng agambye nti district 5 okuli Kyotera, Isingiro, Rakai, Kalangala ne Ntungamu, zezitereddwa mu muteeko gwa district za Uganda ezisinga okuba ku bwerinde, obw’okukwatibwa ekirwadde kino okuva e Tanzania.
Bisakiddwa: Ddungu Davis