Obulwadde bwa mukenenya bwongedde okwegiriisa mu kibuga Kampala era n’engeri gyebusaasaanamu naddala mu bifo ebisanyukirwamu n’ebiwummulirwamu , zetaagamu enteekateeka ez’amangu okubwaηanga okuddiriza ku muwendo gw’abakwatibwa akawuka kano buli lunaku.
Mu kujjukira olunaku lw’abalwadde ba mukenenya n’abaafa olw’obulwadde buno ku mukolo ogubadde ku lubalama lw’ennyanja Nnalubaale ku mwalo gwa Port Bell e Luzira mu ggombolola y’e Nakawa mu Kampala, lutegekeddwa ab’ekitongole ky’obwannakyewa ekibudaabuda ababulina ekya Reach out Mbuya Health Initiative, KCCA n’ebitongole ebirala.Kalondoozi w’ebyobulamu mu ggombolola y’e Nakawa, Dr. Oundo Christopher ku lwa Director w’ebyobulamu mu KCCA agambye nti mu bbanga lya mwaka gumu gwokka, abantu 24,596 mu Kampala bebazuuliddwamu akawuka akaleeta ssiriimu!
Dr. Oundo agambye nti wadde ebibalo byabalaze ogwo omuwendo, nti balina obukakafu nti omuwendo guno mutono nnyo kubanga bangi bakyatya okwekebeza okumanya bwebayimiridde ku nsonga za mukenenya.
Dr. Oundo agambye nti bakyalina omulimu ogw’okwagazisa naddala abasajja okujjumbira enkola ezitangira mukenenya n’okwekebeza, nti kubanga baakizudde ng’abaami batono ddala abeekebeza bw’ogeraageranya n’abakyala.
Agambye nti ekimu ku bivaako mukenenya okusaasaana kuliko obwamalaaya obusitudde enkundi naddala mu bifo ebisanyukirwamu okuli ebbaala n’ebifo abantu gyebagenda okubanyigaanyiga emibiri (massage)
Ssenkulu wa Reach out Mbuya, Josephine Kaleebi alaze okutya olw’engeri mukenenya gyeyeegirisiza mu bavubuka kyokka nga bangi baazaalibwa tebamulina naye nga bamukomboozezza bokka na bokka.
Mukyala Josephine Kaleebi agambye nti “wazzeewo ekyejo mu banna Uganda nga beeyibaala olw’eddagala eriweweeza ku bulwadde buno songa nalyo tebalikozesa nga bwebalagirwa”
Kaleebi agamba nti n’obulwadde obulala nga ssukaali, entunnunsi, okutaataagana mu bwongo nabwo bwongera ku akatyabaga k’okusaasaana kwa mukenenya.
Mmeeya wa Division y’e Nakawa omukolo guno mweguyindidde Paul Mugambe asabye banna Kampala nti ssinga beevaamu nebeerwanako kisobokera ddala okulwanyisa mukenya ne lutuuka 2030 ng’afuuse lufumo.
Wabula Mmeeya Paul Mugambe alaze okutya olw’abakulu mu KCCA okwesuulirayo ogwannaggamba mu kulondoola ebifo naddala ebbaala ebizze binokolwayo nti bifumbekeddemu obuseegu obugambibwa okuvaako okusaasaana kwa mukenenya.
Ku mukolo guno, abakyala Nyangeri Sarah ne Nabweteme Pross Mirembe abawangaala n’akawuka akaleeta ssiriimu boogedde ku mbeera gyebayiseemu omuli okumira eddagala n’okugoberera amateeka g’abasawo ekibayambye okuwangaalako okuzaala n’okukuza abaana baabwe nga tebalina mukenenya.Bawanjagidde bannaabwe abawangaala ne mukenenya obutemalaamu ssuubi kubanga kisoboka bulungi okuwangaala n’akawuka ate nga tolwalalwala kasita ofaayo okutambulira ku biragiro by’abasawo.
Ku mukolo gwe gumu wabaddewo n’omwoleso gw’abaana abawala abaazaalibwa abazadde abalina mukenenya nga bano ebitongole bibabangudde mu mirimu gw’emikono mwebaatandika okufuna ku ssente okwebeezaawo n’okulabirira bakadde baabwe abatakyeyinza.Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K