• Latest
  • Trending
  • All
America etadde envumbo ku bantu abava mu Uganda ne DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ewaddeyo n’obukadde bwa dollar 13 eri amawanga gano okugadduukirira

America etadde envumbo ku bantu abava mu Uganda ne DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ewaddeyo n’obukadde bwa dollar 13 eri amawanga gano okugadduukirira

May 19, 2026
Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026

Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026

June 13, 2026
Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

June 12, 2026
Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

Elon Musk ye Nnaggagga asoose okufuuka Trillionaire munsi yonna

June 12, 2026
Obwakabaka  bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026

Obwakabaka bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026

June 12, 2026
Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

June 12, 2026
Empaka za FIFA world Cup 2026 zigguddwawo – Mexico ekubye SouthAfrica 2 -0

Empaka za FIFA world Cup 2026 zigguddwawo – Mexico ekubye SouthAfrica 2 -0

June 12, 2026
Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

June 11, 2026
Katikkiro Mayiga agguddewo mu butongole omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – atenderezza CBS FM olw’okuweza emyaka 30 ng’eweereza

Katikkiro Mayiga agguddewo mu butongole omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – atenderezza CBS FM olw’okuweza emyaka 30 ng’eweereza

June 11, 2026
Government ya Uganda egenda kwewola ensimbi obuwumbi bwa shs 730 –  okukwasizaako abalimi okufukirira ebirime

Government ya Uganda egenda kwewola ensimbi obuwumbi bwa shs 730 – okukwasizaako abalimi okufukirira ebirime

June 11, 2026
Tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola mu nnaku 5 eziyise –  president Museveni agumizza bannauganda nti obulamu busiinga ensimbi

Tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola mu nnaku 5 eziyise – president Museveni agumizza bannauganda nti obulamu busiinga ensimbi

June 10, 2026
Ba minister abaggya abatali babaka ba parliament bakubye ebirayiro ebibakkiriza okuteesa mu parliament  eye 12 – Justine Kasule Lumumba akulira eby’amawulire yoomu ku balayidde

Ba minister abaggya abatali babaka ba parliament bakubye ebirayiro ebibakkiriza okuteesa mu parliament eye 12 – Justine Kasule Lumumba akulira eby’amawulire yoomu ku balayidde

June 10, 2026
Buganda etongozza empaka z’omupiira gw’amasaza ga Buganda eza 2026 – bulabudde abakola effujjo nebanafuya ekiruubirirwa ky’okukuuma obumu

Buganda etongozza empaka z’omupiira gw’amasaza ga Buganda eza 2026 – bulabudde abakola effujjo nebanafuya ekiruubirirwa ky’okukuuma obumu

June 10, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Health

America etadde envumbo ku bantu abava mu Uganda ne DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ewaddeyo n’obukadde bwa dollar 13 eri amawanga gano okugadduukirira

by Namubiru Juliet
May 19, 2026
in Health
0 0
0
America etadde envumbo ku bantu abava mu Uganda ne DRC olw’ekirwadde kya Ebola – ewaddeyo n’obukadde bwa dollar 13 eri amawanga gano okugadduukirira
0
SHARES
37
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Government  ya United States of America etadde envumbo ku bantu bonna abava mu Uganda ne democratic Republic of Congo ne South Sudan olw’ekirwadde kya Ebola.

Ekiwandiiko ekivudde mu government  ya America okuyita mu ministry yaayo ey’ensonga zamawanga amalala eya Department Of State, America egambye nti abagwira bonna naddala abatali batuuze ba America nga babaddeko mu mawanga gano asatu mu nnaku 21 eziyise, tebakkirizibwa kulinnya kigere ku ttaka lya America.

Mu bukwakulizo buno, government ya America yakwekebejja nnyo buli muntu ayingira America okuva mu mawanga ago.

America era emyumyudde ensalo zaayo okuli ebisaawe by’ennyonyi n’emyaalo, nga abasaabaze bonna bakusooka kwekebejjebwa nga tebanakkirizibwa kuyingira America.

Mu kwaηηanga ekirwadde kino, government ya America ewadde Uganda ne DRC obukadde bwa Dollar za America 13,  bwe buwumbi bwa Uganda 48  okuzikwasizaako okulwanyisa ekirwadde.

Ensimbi zino zakuyambako ebitongole by’amawanga gano  ebikwatibwako eby’obulamu okuwanirira laboratory ezikola eby’okunonyereza ku Ebola, okuwa amawulire agobuliwo agakwata ku kirwadde.

Ensimbi zino era zakukwasizaako mu byokuziika abafudde ekirwadde kino, okwekebejja abantu abasuubirwa nti babaddeko n’abantu abalina ekirwadde kino, saako okwekebajja abantu abayingira naabafuluma amawanga ago wamu n’okuvujjirira obukiiko bw’amawanga gano obulondoola ekirwadde.

Ensimbi zino government ya America eziwadde amawanga gano okuyita mu ndagaano gyeyakola nago, ekwata ku byobulamu emanyiddwa nga America First Global Health Strategy, amawanga gano mwegagabanyizaako government ya America, amawulire agakwata ku byobulamu bwabannansi baago.

Ebibalo by’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu munda mu DRC biraga nti abantu 118 bebaakattibwa Ebola mu bbanga lya wiiki 2 lwekyabalukawo, songa abakunukkiriza mu 400 bali ku ndiri.

Akawuka kano aka Ebola, ekitongole ki World Health Organisation kyakatuuma Bundibugyo Virus nga kigambibwa nti kasaasaana ku misinde miyitirivu okusinga ku bulala obubaddewo, era kabulabe nnyo.

Amawulire okuva e DR Congo galaga nti akasattira kamaanyi nnyo, oluvannyuma lw’omusawo munnansi wa America abadde akolera mu kitongole kya Center for Disease Control okukwatibwa ekirwadde kino, era yoomu kubali kundiri.

Kitegeezeddwa nti esaawa yonna, omumerica ono atayatuukiriddwa bimukwaatako agenda kuttikibwa ku nnyonyi atwalibwe e Bugirimaanyi gyaaba ajjanjabirwa.

Okusinziira ku World Health Organisation, waliwo abasawo abalala mu kitongole kino ki Center for Disease Control munda mu DR Congo bebakyetegereza ku bigambibwa nti nabo akawuka kandiba nga kaabayodde.

Mu Uganda omu omu yeyakakasibwa nti yafudde Ebola mu bbanga kya wiiki emu eyise, ng’ono yabadde yakava mu DRC.

Government ya Ugabda yayimiriza emikolo gy’okukuza olunaku lw’abajjulizi e Namugongo  okubadde lugenda okubaawo nga 03 June, ng’emu ku ngeri yookutangira okusaasaana kw’ekirwadde kino.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo
  • Elon Musk ye Nnaggagga asoose okufuuka Trillionaire munsi yonna
  • Obwakabaka bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026
  • Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist