Leero 25 July, lunaku lwansi yonna lwakwefumiitiriza ku biviirako abantu okubbira ku mazzi n’engeri gyebasobola okutaasibwamu.
Kigambibwa nti buli luvannyuma lwa myaka 10, abantu obukadde 2.5 bebabbira nebafiira mu mazzi.
Mu Uganda emikolo gy’olunaku luno gikuziddwa mu kibaangirizi ky’abasikawutu e Kaazi-Busaabala ku mulamwa ogugamba nti. “Baako ekintu kimu kyokolayo okutaasa abalala okubbira”
Ebiwandiiko biraga nti abaana wakati w’emyaka 1 -9 bebasinga okugwa mu mazzi nebafiiramu.
Kigambibwa nti abafiira mu mazzi ebitundu 90 ku kikumi, bafiira mu nnyanja, emigga, enzizi ezaabulijjo, ebidiba omuwugirwa (Swimming pools) ne ddaamu.
Olunaku luno olw’okwefumiitiriza ku ngeri y’okutaasaamu abafiira mu mazzi, lwatongozebwa ekibiina ky’amawanga amagatte mu 2021.
Abakugu bawa amagezi eri abantu bonna okufaayo okuyiga okuwuga n’okufuna obukodyo bwokwetaasa mu mbeera ng’etabuse ku mazzi ate n’okuyamba okusomesa abalala.
Minisiter omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja Agnes Nandutu y’akiikiridde minister w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng.
Abakulu mu ministry bategeezezza nti obubenje bw’okumazzi bukwata kyakusatu mu bitta banna Uganda.
Abantu abasinga okufiira mu mazzi bebasaabalira ku mazzi nga tebamanyi kuwuga nga kiva ku bubenje obuva kukutabanguka kw’ennyanja n’emigga, ba kalittima abasuula bannabwe mu mazzi n’abalemererwa okuwuga olw’emibiri gyabwe okunafuwa nga bali mu mazzi.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K