Ekibiina ekiddukanya empaka z’amasomero ga senior ez’omupiira ogw’ebigere eza National Schools Championships, ekya Uganda Secondary School Sports Association, kikakasiza nti amasomero 64 agakakasibwa okwetaba mu mpaka z’omwaka guno 2025 gamaze okutuuka mu district ye Ngora okweta mu mpaka.
Empaka zino zigenda kutandika enkya ku lw’okubiri nga 06 okutuuka nga 14 May,2025, era nga gamaze okusunsula abazannyi abagenda okuvuganya mu mpaka zino.
Amasomero gonna 64 gasengekeddwa mu bibinja 16 nga buli kibinja kirimu ttiimu 4, nga empaka zino zigenda kuyindira ku ssomero lya Ngora High School.
Empaka z’omwaka oguwedde 2024 zategekebwa Masaka SS, era St Julian High School be bannantameggwa b’empaka ezasembayo.
Kibuli SS ne St Mary’s Kitende be bakyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi 11 buli omu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe