Police ye Iganga ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala mu balonzi be Bukaaye mu gombolola ye Nakalama mu district ye Iganga , ababadde bakuηaanye okulonda abakulembeze babwe ku LCI aba NRM, okwasoose okugwa obutaka mu kulonda okwabaddewo nga 07 May,2025.
Abalonzi baabadde bawakanya eky’abakakiiko kebyokulonda aka NRM mu Iganga okubalagira batambule bagende balondere ku kyalo ekirala ekye Magogo.
Sentebe we kyalo Bukaaye Kilanda Mike asabye abalonzi bakakkane era nakowoola n’abakulira ebyokulonda ku kitebe kya NRM okutereeza ensonga, sikulwa nga nakalulu akanaddako kabeeramu vulugu n’okuyiwa omusaayi.