Abakulira eby’obulamu mu Wakiso balagidde amalwaliro 2 okuli erya Sayyidinah Abubaker Healthy center IV e Matugga n’eddwaliro lya Aliim Medical center e Nabweru Nansana municipality okugira nga gaggalawo okumala ekiseera, nga kitebeerezebwa nti omulwadde eyafa Ebola gyeyasooka okujanjabirwa, ate nebatasobola kukiteegererawo.
Abasawo b’amalwaliro gano bebamu ku bantu 200 abaateereddwa mu bifo ebyenjawulo ewalondoolwa abantu abagambibwa nti baalina akakwate ku mulwadde eyafa ebola nga 29 January,2025, eyali omusawo w’e Mulago.
Okusinziira ku akulira eby’obulamu mu district ye Wakiso Dr. Emmanuel Mukisa Muwonge abasawo abawerera ddala 21 abakolera mu malwaliro ago bebekenenyezebwa.
Dr Mukisa mungeri yemu alagidde amasomero , amasinzizo n’ebifo ebyolukale okuteekebwamu ebifo abantu webalina okusooka okunaabira engalo okwewala okukwatibwa Ebola nendwade endala nga Mpox.
Mu kiseera kino ministry y’eby’obulamu yakalangirira abantu abalala 2 abalina ebola era bajanjabibwa.
Mu ngeri yeemu n’abasawo mu malwaliro agatali gamu batandise okugemebwa Ebola, wabula ng’eddagala lino lisoose ligeme
Bisakiddwa: Tonny Ngabo