Akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission kategeezezza nti okulonda kw’abakulembeze b’ebyalo abakulira abakadde, abaliko obulemu n’abavubuka nti kwatambudde bulungi ddala n’ebitundu 99%, ng’obumulumulu obutonotono obwabaddemu bwabadde nga 1%.
Okulonda kwaliwo nga 16 June okw’abakadde, abaliko obulemu nga 17 June, n’abavubuka nga 19 June,2025, ku mutendera gwebyaalo okwetoloola eggwanga lyonna, wabula ng’abakwetabyemu abamu bazze bakwogerwako nti kwabaddemu obubbi nemivuyo egitagambika.
Wabula Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti alipoota ezafuniddwa akakiiko kebyokulonda okuva mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo,zaalaze nti okulonda kuno kwatambudde bulungi nnyo era ebitundu 99% okulonda tekwabaddemu mivuyo.
Akakiiko kebyokulonda kagamba nti obuvuyo obutonotono bwabadde mu Kampala, nti naye ebitundu ebirala okutwaaliza awamu okulonda kwabadde kulungi nnyo.
Okulonda okuddako okw’abavubuka, abakadde nabaliko obulemu kati kugenda kumutendera gw’emiruka.#