Abaana n’abavubuka abali wakati w’emyaka 14 -24 abawera 59 bakakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogukutte ekifo ekisanyukirwamu gyebabadde bagenze okukuba endongo mu ggwanga lya Macedonia mu Europe.
Enjega eno egudde mu kibuga Kocani ekisaangibwa mu bukiikakkono bwa Macedonia, mu kifo ekisanyukirwamu ekibadde kikubyeko abavubuka abawera 1500.
Kigambibwa nti wakati ng’endongo eyoongedde okutaba, waliwo akubye ebiriroriro munda mu kizimbe mu ngeri y’okusanyuka, ekiddiridde gubadde muliro kukwata, ababadde badigida nebatandika okubuna emiwabo nebeerinnyarinnya nga bataasa obulamu.
Abawera 59 bafudde, abalala 155 bakoseddwa nnyo.