Abatuuze b’omundeeba mu gombolola ye Lubaga mu Kampala bagudde ku kikutiyaekirimu number Plate za Pikipiki eziwerako,nga zino bazisanze okuliraana omulambo gw’omuntu eyasuulidwa mu kitundu kino wabula nga tamanyiddwa mu kitundu era taliiko kimwogerako.
Kigambibwa nti ezimu ku pikipiki ezizze zifiirako abantu nebazitema sipeeya mu ndeeba ,abazibba bebabadde bakuηaanyizirza number Plate zino mu kikutiya.
Ssentebe wa Tomusange Zone mu Ndeeba Nakiryoowa Evryn ategezeza nti bali mukutya nti kubanga banyini number Plate zino bandiba nga battibwa.
Police ye Katwe ezitutte ku kitebe kyabwe batandikirewo okunoonyereza
Bisakiddwa: Lukenge Sharif