Molly Katanga gwe balumiriza okutta bba Henry Katanga bongedde okumuwaako obujulizi, era omusawo Dr. Richard Ambayo eyakebera omulambo mu ggwanika ekkulu eryé Mulago, akakasizza nti omugenzi baamuttisa mmundu.
Molly Katanga ebigenda mu maaso mu kooti abigoberedde asinziira ku mutimbagano.
Dr. Richard Ambayo ngéra akola ne police ya Uganda okuva mu 2021, mu mpoza ye agambye nti nga 2 Nov 2023 yafuna obubaka okuva ku police yé Bugoloobi, nga bamusaba okwekenneenya omulambo gwa Katanga.
Agambye nti kwólwo baali bakola ne musawo munne Dr Male Mutumba, era oluvannyuma lwa muwala wómugenzi ayitibwa Martha Nkwanzi okubakakasa nti oyo ye kitaabwe, omulambo baagubaaga ne bakizuula nti yali akubiddwa essasi eryamuyuza akawanga.
Dr Ambayo ne Dr Mutumba bombi bakkaanya nti mu alipoota yabwe nti omugenzi ekiwundu kyéssasi kye yafuna ku mutwe ngáte eyalimukuba yali kumpi nnyo, kyékyamuviirako okufa.
Wabula akinogaanyizza nti mu kwekebeggya omulambo gwe, tebaazuulamu ssasi yadde obuganga bwéssasi.
Mu musango guno nnamwandu Molly Katanga ne bawalabe 2 Martha Nkwanzi ne Patricia Kankwanzi babalumiriza okwekobaaana mu lukwe lwókutta kitaabwe, oluvannyuma ne bakweka obujulizi.
Bano era bavunaanibwa bumu ne George Amanyire eyali omupakasi mu maka ago, saako omusawo wabwe Charles Otai nga bonna kigambibwa nti olukwe baalulimu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa