
Abasawo nga bayita mu kibiina ekibagatta ki Uganda Medical Association bakalambidde nti ssibakuyimiriza keedimo kabwe akamaze kati ennaku ssatu, okutuusa ng’omukulembeze w’eggwanga ebisuubizo byeyabawadde abitadde mu buwandiike, n’okutuukirizaako ebimu ku bisuubizo.
Abasawo bano baasisinkanyemu omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni mu maka g’obwa president e Entebbe, okugaayagaaya mu nsonga ezibaviiriddeko okwediima, nga olukungaana lwetabiddwamu n’abakulu mu ministry yeby’obulamu ne ministry yeby’ensimbi wabula ebyavuddeyo tebinasanyusa basawo.
Abasawo bagamba nti wadde basisinkanyemu omukulembeze, era aliko byabasuubizza nti naye sibakukayimiriza okutuusa ng’ensonga zabwe ziteekeddwa mu nkola oba president museven okubawa obweyamo bw’ebisuubizo bye mu buwandiike.
Abasawo bagamba nti okuva mu mwezi gwa museenene 2017 lwebaateeka wansi ebikola nga bemulugunya ku musaala omutono ogubawebwa, n’okutuusa kati gavumenti ebateeka mu bisuubizo tetuukiriza.Kinajjukirwa nti ku mulundi ogwo waliwo amaloboozi agaawulirwa nti gavumenti yali eteekateeka kupangisa abasawo okuva e Cuba okugira nga baziba eddibu eryali liteereddwawo abasawo abaali bekalakasa wabula nabo baafuka gannyana.
Kati abasawo bagala bongezebwe omusaala, gavumenti ewandiise abasawo abajja, abakola ebitundu 40 ku kikumi eby’ebifo ebitaliimu basawo,okuddukirira banabwe ne family zabwe abaakosebwa covid 19, okussa ebikozesebwa mu malwaliro n’ebirala.
Dr. Herbert Luswata, ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda Medical Association,ategezezza nti bagala president Museven ebisuubizo byonna byeyabawadde asooke ku biteeka mu buwandiike, ate gavumenti ebeeko n’ebimu ebitandikirwako bissibwe mu nkola kati, wabula president yasigadde abasuubiza mwaka gwa byansimbi ogujja.
Ekibiina kino kirimu abasawo abasoba mu 7000 okwetoloola amalwaliro ga gavumenti yonna gyegali. Sso ng’ate n’abasawo abakyagezesebwa bayite bq yintaani abasoba mu 1000 nabo bakyagenda mu maaso n’akediimo kabwe nabo bagala kubongeza ku musaala okuva ku mitwalo 750,000/- batuuke ku bukadde bubiri n’ekitundu 2,500,000/-.