Abasirikale ba police 7 abaggalirwa néyali ssaabaduumizi wa police Gen. Kale Kayihura ku misango egyókuwamba nókukaka bannansi ba Rwanda okudda ewabwe, nókuddira ebyókulwanyisa byéggwanga nebabiteeka mu mikono emikyamu, kyaddaaki kkooti yámagye e Makindye ebejjeerezza.
Abasirikale abayimbuddwa ye Col Ndahura Atwooki, Herbert Muhangi, Nixon Agasirwe, Richard Naboine, Patrick Muramira, Jonas Ayebaza ne Muyomba Kitagenda.
Abayimbuddwa bonna baali mu bifo bya waggulu mu police ya Uganda, era baali bavunaanibwa bumu ne Kayihura, newankubadde ye yayimbulwa mu August 2023.
Oludda oluwaabi lwalumiriza nti bino byaliwo nga 25 October 2013 e Kammengo Mpigi, abasirikale bano 7 bwe beekobaana ne mukama wabwe Kayihura, nebawamba bannansi ba Rwanda 3 abaali abanoonyi bóbubudamu, ne babakwata ku mpaka ne babazza ewabwe nga tebeesiimidde.
Abasirikale bano era baavunaanibwa ogwókuddira emmundu nebazikwasa eyali akulira ekibiina kyábagoba ba bodaboda ekya Bodaboda 2010 Abdallah Kitatta, omuntu ataalina buyinza kubeera na kintu kyámagye kyonna.
Bano era babadde bawerennemba nógwokubuza emmundu ezaali zaawebwa ebimu ku bitongole bya police ebikessi,omuli ekya Flying Squad, Special Operations Unit, Crime Intelligence, nékya Witness Protection Unit.
Bisakiddwa: Betty Zziwa