Mu kawefube w’okwongera okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya mu Uganda Ministry y’ebyobulamu n’abanoonyereza ku by’obulamu bamaze okwekennenya akaweta akasobola okukozesebwa abakyala okwewala okukwatibwa akawuka ka siriimu.
Enkola eno etuumiddwa Dapivirine Ring, ng’akaweta akateekebwa mu mukyala, kalimu eddagala eritangira akawuka okuwereba omukyala.
Ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ekya World Health Organisation mu January 2021, kyayisa enkola eno okutandika okukozesebwa abakyala abali mu bifo eby’obulabe ebiyinza okubaviirako okukwatibwa mukenya naddala mu mawanga ga Africa.
Abakugu mu kunoonyereza bagamba nti akaweta kano kayamba omukyala okumala ennaku 28 ng’akatadde mu mubiri gwe, era alina okukakyusa buli luvanyuma lwennaku ezo okusigala n’omugaso.
Bino bijjidde mukiseera nga waliwo nenkola endala okuli ey’okukubwa empiso emala ebbanga lya myezi 2 mu mubiri gwomuntu, ssonga etandika okukola oluvannyuma lw’ennaku 7 ng’emukubiddwa.
Enkola endala ye y’empeke ezimiribwa oluvanyuma lw’esaawa 2 ng’omuntu tanneegatta, ate n’oluvanyuma lw’esaawa 24 ng’amaze okwegatta.
Dr. Herbert Kadama, omukugu mu by’okunonyereza ku kawuka ka mukenenya, agamba nti ng’omwezi guno ogwa August 2024 tegunnagwako, government mu butongole yakutongoza akaweta kano ng’agamu ku makubo agalwanyisa mukenenya, era abantu batandike okugenda mu malwaliro gonna bakafune.
Agambye nti akaweta bakakagezesa mu Bakyala 285 okwetoloola eggwanga nga balondoolebwa mu malwaliro 7, era nekikakasibwa nti akaweta kakola bulungi ku muntu okumutangira mukenenya.
Uganda erimu abantu akakadde kamu n’emitwalo 40 abawangaala n’akawuka ka mukenenya, wabula ng’abantu emitwalo 20 tebamanyiddwako mayitire ate ng’obulwadde buno busaasaanira ku misinde gya bitundu 5%.
Bisakiddwa: Ddungu Davis