Omulabirizi wa West Buganda anaatera okuwummula Bishop Henry Katumba Tamale, ayambalidde abantu abali mu bifo ebyenjawulo naddala abatwalibwa okuba abayivu, nti baafuuka babbi babbaluwa.
Agambye nti abantu abbisa ekkalumu bafuuse babulabe eri eggwanga lino, era ekyongedde okunafuya obuweereza obwenjawulo, nga buli akwasibwa ekifo kyonna eky’obuweereza obulimu ensimbi asooka kunoonya muwaatwa gwabbiramu.
Abadde ku somero lya siniya ery’abakulisitayo erya Buyamba Church of Uganda e Rakai Kooki, nategeeza nti ababbisa ekkaalaamu kati bebalabe b’eggwanga namba emu, nagamba nti kyeragira ddala bulungi kuba minister abawerennemba n’emisango gy’obulyake mu kooti.
Bishop Katumba Tamale ali mu nteekateeka y’okusiibula abakulisitayo mu budyankoni obwenjawulo, nookulaga ebikoleddwa mu kiseera wabeeredde Omulabirizi
Alagidde amasomero gonna agali ku musingi gw’e kkanisa okuterkako ebigambo eby’amagezi n’okukwatisa empisa eri abaana, bakule nga balimu ensa, n’okuddamu okuzimba eggwanga eritali lyababbi.
Bishop Katumba asiimbye ejjinja awagenda okuzimbibwa ebizimbe ebipya omugenda okusomesezebwa abayizi ba A’level ku somero eryo erya Buyamba Church of Uganda e Rakai Kooki.
Essomero lino erya Buyamba church of Uganda lyatandiika 1985 nga lirimu abayizi abasoba mu 500, kyoka bangi bakoma mu S4 nebawanduka.
Kino kyekiwalirizza abaasomerako mu ssomero eryo ngabbakulembeddwamu Kayongo Moses okusalawo bayambeko mu kuzimba.
Amyuka akilira abakozi e Rakai omulongo Kamya Kabuye Edward alabudde ku kabi akali mubkulagajjalira abaana, nti kyabulab nnyo, era awaddeyo akakadde k’ensimbi kamu ku mulimo ogwo.
Omukulu w’essomero eryo Kisakye Mike agambye nti ebizimbe bino byakuyamba okukendeeza ku baana ababadde bawanduka mu ssomero nga bakoma ku S.4 olw’okulemwa okweyongerayo mu bibiina ebya waggulu.
Obulabirizi bwa West Buganda buwaddeyo ensawo za cementi 150 okuyamba essomero lino erya Buyamba Church of Uganda e Rakai Kooki.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi.