Abakozi abaziika emirambo egibeera gibuliddwako bannyinigyo mu Town Council ye Luweero bediime nebasuula emirambo 2 ku wofiisi za town council nga balaga obutali bumativu olw’okulwawo okusasulwa emisaala gyabwe.
Abakozi bano bagamba nti babanja emitwalo gya shs 900,000/= oluvannyuma lw’okuziika emirambo egiwera.
Bannyonyodde nti mu kusooka baalinga buli mulambo baguziikira shs emitwalo 60,000/= nezikeendezebwa okukka ku shs emitwalo 30,000/=, nga mu kiseera kino buli mulambo baguziikira shs omutwalo 15,000/=.
Amyuka Mayor w’e Kibuga kye Luweero Nathan Lumu avumiridde ekikolwa kino kyagambye nti kirinnyirira eddembe ly’abafu, era n’abategeeza nti basaanye okubeera abagumiikiriza nti kubanga ebintu bya government biyita mu mitendera.
Bisakiddwa: Conslata Ttaaka