Abatuuze mu kitundu ekye Kakoni Nindye mu ggombolola ye Nkozi Mawokota ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, bawonye okufiira mu kabenje oluvannyuma lw’omuvubuka abadde ayiga okuvuga loole, bwemuwabyeeko neyingirira essomero neesibira mu nnimiro z’abatuuze.
Loole ekoze Akabenje ya kika Kya Isuzu Forward number UBQ 675 R, ng’omuvubuka abadde ayiga okuvuga ategerekeseeko limu lyokka erya Kayiwa.
Abamu kubatuuze be Kakoni Nindye Nkozi aboogeddeko ne Cbs bategeezezza nti loole eyo evudde Kampala negenda okunona omusenyu mu kirombe kye Luteete okumpi n’omugga Katonga.
Wabula dereeva waayo omutuufu bwatuuse mu kifo ekimanyiddwa nga ku ttaawo okumpi n’akabuga ke Kakoni, loole agiwadde omuvubuka omuyiga Kayiwa agivuge agikkirize wansi mu kirombe kyomusenyu.
Abatuuze abataagadde kubaatuukiriza mannya bongeddeko nti ba dereeva ba loole zomusenyu balina enkola eyokuwa abavubuka abaakazibwako abasazi bomusenyu mu kitundu ekyo, bavuge mu mmotoka ezo bazikkirize wansi mu kirombe basobole okuyiga okuvuga.
Abatuuze bagamba nti omuvubuka Kayiwa owemyaka 19 bwakutte siteringi ya mmotoka asimbudde omulundi gumu ku misinde emingi okukakkana nga loole etomedde loole endala ennene ekika kya Benz number UBR 730Q ebadde yeetisse omusenyu ngegutwala Kampala, negyonoona mu maaso, era awo wetomeredde n’ekikomera ky’essomero ly’abaana abato erya Motherland Nursery School.
Ddereeva wa loole omutuufu naye ng’abaddemu mu mmotoka agezezaako okulwana nayo ereme kugenda ku bizimbe ewabadde abantu, era oluyise mu kikomera n’egenda esibira mu lusuku lw’omutuuze.
Police loole ejitutte okwongera okunoonyereza ku kabenje kano, so ng’omuvubuka abadde ayiga okujivuga ataddeko kakokola tondeka nnyuma.
Kigambibwa nti loole eyo yeemu gyebuvuddeko yatomedde ennyumba y’omutuuze, era nnyiniyo abadde yakamaliriza okuliwa.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick