Abantu 2 baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago ng’embesra mbi ddala oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku luguudo Gaddafi Road mu kibuga Kampala okuliraana ettendekero ly’amateeka erya Law Development Centre, emmotoka eremeredde omugoba n’esaabala Bodaboda.
Emmotoka ekika kya Super custom namba UAW 709K etomedde Loole eyafiridde mu kkubo, kwekugwa negwiira bodaboda ebaddeko n’omusaabaze, era bombi baddusidwa mu ddwaliro e Mulago nga bali mu mbeera mbi.
Ddereeva wa mmotoka ya Super Custom naye police emuddusiza mu ddwaliro ng’embeera sinnungi
Aberabiddeko nagaabwe bagamba nti owa Super Custom abadde awenyuuka buweewo,bwagezezaako okusiba ng’emmotoka tekyasiba naasaabala emmotoka endala ebadde yafiiridde ku kkubo.
Emmotoka zombi police ezigyeewo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif