Abatuuze ku kyalo Bulamu mu ggombolola Muduuma mu District ye Mpigi bakkakanye ku bavubukla babiri abateeberezebwa okubba emmotoka ku mukyala abadde avuga ng’ava ku ludda lw’e Mityana ng’adda Kampala, babakubye emiggo egibattiddewo.
Abavubuka bano babadde batambulira ku piki piki bokisa Namba UGB 782E, bayimirizza Omukyala ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala bwebamutegeezezza nti omupiira gwe gubadde gufunye ekizibu, wabula bwavudde mu mmotoka okwetegereza emipiira, omu ku bavubuka bano kwekugisimbula nagyolekeza ku kyalo ekiriraanyeewo e Busaanyi .
Omukyala ono akubye enduulu esombodde abatuuze ebatandikidde wo okuwondera n’okutaayiza ababbi bano, okukakana nga bazingizizza oluguudo gyerukoma nebabakwata , era batandikiddewo okubalirika emigoba nte egibattiddewo.
Ssentebe we Kyaalo Bulamu Mubiri Godfrey avumumiridde abavubuka abatagala kukola nga balowooza okufuna amangu nga bayise mu kunyaga.
Police okuva e Jeza eyitiddwa neggyayo emirimbo.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius