Kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi eragidde omubaka omukyala ow’e Lwengo Cissy Namujju ne Yusuf Mutembule owa Bunyole East bazzibweyo nku alimanda, okutuusa nga 17 June,2024.
Omubaka Namujju alemereddwa okuleeta ebbaluwa ya LC, ekakasa ekyalo ekituufu gy’abeera.
Omubaka Yusuf Mutembuli omuntu we ow’okubiri abadde amweyimiridde Minsa Namukose ; alaze nti akolanga community development officer mu Mukono Municipality, kooti emugobye ng’engamba nti abadde talina bisaanyizo byeyimirira mubaka.
Bavunaanibwa wamu n’omubaka Akamba Paul owa Busiki Constituency ayiimbuddwa ku kakalu ka bukadde bwa shs 13 ez’obuliwo, ate abamweyimiridde basiddwako akakalu ka bukadde 100, ezitali za buliwo.
Omulamuzi Joan Aciro alagidde Akamba okuwaayo passport ye eri kooti, era n’alagirwa okweyanjula mu kooti nga 17 June,2024.
Obujulizi obuli mu kooti bulaga nti abasatu bano baaperereza ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission Marian Wangadya, nti bwaba ayagala parliament okuyisa embalirira y’akakiiko eyegasa, nabo yali alina okuyiiya wabateera omutemwa gwabwe gwa bitundu 20%.
Ababaka bino byonna babyegaanye.
Wabula omubaka Akamba Paul azeemu n’akwatibwa amangu ddala nga yakayimbulwa, bw’abadde afuluma kooti.
Omubaka Akamba akwatiddwa abasajja ababadde bambadde engoye eza bulijjo, wakati mu b’oluganda n’abawagizi be ababadde bamukulisa ekkomera.
Assiddwa mu mmotoka kika kya Noah n’emmotoka endala ebadde ewandiikiddwako ebigambo Joint Anti Terrorism Task Force – JATT.
Bisakiddwa: Betty Zziwa