Abantu 9 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Dyango mu district ye Rakai, n’abalala 25 baddusiddwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Abafudde kuliko omwana ow’omwaka gumu n’ekitundu, abakyala 2 n’abasajja 6.
Babadde bagenda kuziika mu district ye Isingiro, emmotoka kwebabadde batambulira neremerera omugoba waayo negwa neyefuula.
Emmotoka eno UAP 559 X kika kya Canter ebadde evugibwa omugoba ategerekeseeko erinnya limu erya Eric.
Akulira police y’ebidduka e Rakai Bigimaana fudyeri agamba nti emmotoka eno ebadde mu mbeera mbi era nga n’emipiira gibadde gyaggwako dda.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi