Abaaliko abakozi ba Kampuni ya NYTIL bakonkomalidde ku kooti enkulu e Jinja, omulamuzi Faridah Bukirwa ali mu mitambo gy’omusango gwebaawaabira Kampuni okulwawo okusasula akasiimo kaabwe bwatalabiseeko.
Abantu bano abasoba mu 100 ababadde abakaawu bagambye nti bakooye okutambulira obwereere buli omulamuzi lw’abayita okuwulira ensonga zabwe, ate nazitambuza akasoobo.
Nga bakulembeddwamu Mulimira Dan bagamba nti babanja ensimbi kumpi obuwumbi mukaaga, bagamba nti sibamativu nentambuza y’omusango gwabwe, ogututte kati emyaka egisoba mu 20 kyokka tebasasulwa.
Bagamba nti bakozesa obusente bwebalinawo mu by’entambula okujja ku kooti buli lwebayigibwa, kyokka kikwasa ennaku ate omulamuzi obutalabikako.
Bategeezezza nti omulamuzi Bukirwa Faridah yabagamba badde ku kooti leero nga 16 Auguat ,2023 ababuulire ekiddako, wabula naye talabiseeko.
Bagenze balukkuluma olw’obutamanya na lunaku lwebanadda mu Kooti.
Nytil yatandikibwawo government y’abafuzi b’amatwale mu 1954 nga kampuni enkozi y’engoye n’emirimu emirala, wabula mu mwaka gwa 1996 government eriko negitunda eri kampuni z’obwannanyini.
Abakozi abaali bakolamu baafiirwa emirimu, era okuva olwo babadde babanja ensimbi z’akasiimo kabwe n’emisoso emirala.
Bisakiddwa: Kirabira Fred