Abantu abatawaanyizibwa ekirwadde ky’Ensigo mu Uganda nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Uganda Kidney Association balombozze okusoomozebwa kwebayitamu, olw’obutafuna bujjanjabi bwetaagisa.
Banokoddeyo obutaba na byuma bimala ebikozesebwa okubajjanjaba, amalwaliro agabirina okubeera ewala, ebbeeyi y’eddagala eri waggulu, abasawo abakugu ku kirwadde kino okubeera abatono mu Uganda, abantu obutaba na bumanyi ku bikwata ku bulwadde buno n’ebirala.
Lukwago Samuel nga yakolanga Ssentebe w’Ekibiina ekigatta abatawaanyizibwa ekirwadde ky’Ensigo ki Uganda Kidney Association, asabye government eya wakati n’ebitongole ebyenjawulo okulowooza ku nsonga eno.
Babadde basisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, nebamusaba okukozesa eddoboozi lye okubunyisa ensonga eno.
Katikkiro wasinzidde naasaba nasaba government okutwalira awamu erowooze ku kulwanyisa endwadde enkambwe, nga esooka n’Okukola ku basawo abazirinako Obukugu baleme kujula, n’okudduka mu ggwanga nebagenda baweerereza mu mawanga amalala so nga ne bannauganda babeetaaga.