Bakwatiddwa ku ssaawa nga 5 ez’ekiro kya nga 18 August,2026 ku kyalo Mijumwa, oluvannyuma lwa police okukola ekikwekweto ekiro nga yesigama ku mawulire gebafuna okuva mu batuuze.
Police ekutte takisi mwebabadde batambulira ekika kya Toyota Hiace, No. UAV 523K, nga erimu abantu abo 22 n’ebintu eby’enjawulo ebiteeberezebwa okukozesebwa mu kuyigga ensolo mu bukyamu.
Mu bintu ebyakwatiddwa mulimu obutimba obukozesebwa mu kuyigga ensolo, amafumu, amajambiya nebilara kwossa n’ennyama enkalilire n’embisi.
Police era ebasanze n’amayembe g’Empeewo, Engabi ttaano n’ebirara.
Omwogezi wa Police mu kitundu kya Savannah, ASP Sam Twiinamazima, ategeezezza nti bagguddwako omusango gw’okuyigga ensolo mu bukyamu.
Abakwate bakumirwa ku police e Nakaseke nga bwebalindirira okukwasibwa ab’obuyinza era abakugu mu nsonga z’ensolo zomunsiko, basobole okukolwako nga bagoberera amateeka agakwata ku bisolo by’omu nsiko.
Police era esabye abantu abalina amawulire ku bantu abeenyigira mu kuyigga ensolo mu bukyamu oba okutunda ebitundu byazo, okutegeeza police ebali okumpi.
Bisakiddwa: Taaka Conslanta








