Ekitongole ekivunanyizibwa ku kulondoola ebisomesebwa mu matendekero agawaggulu ki National Council of Higher Education, (NCHE), kitandise okukola ennoongosereza mu masomo agasomesebwa abayizi mu matendekero ne University okwetoloola eggwanga lyonna.
Abakugu mu byenjigiriza n’abakwatibwako okuva mu Universities zonna bakuηηaanidde ku wofiisi z’ekitongole kino e Ntinda, gyebagenda okumala wiiki namba nga bakubaganya ebirowoozo ku ngeri ensonga eno gyenekwatibwamu.
Ennoongosereza zino zesigamiziddwa ku Nnambika empya ey’ebisomesebwa abayizi mu masomo, eyatuumwa Competent Bases Curriculum, eyayisibwa ministry y’ebyenjigiriza.
Mu kukola ennoongosereza mu masomo ga University, essira lyakussibwa;
-Amasomo agalina okuggyibwawo olw’enkyukakyuka ya Technologia nga kati ebintu bingi ebibadde biteendekebwa abayizi ku University computer zisobola okubikola.
-Ebintu ebirina okukozebwa mu masomo aganaaba gakoleddwamu ennoongosereza
– Abalina okubisomesa
-Engeri gyebalina okubisomesa
– Ekiseera oba emyaka gyebirina okumala nga bisomesebwa n’ebirala.
Eno yeemu ku nteekateeka Nnamutaayiika ey’okukyusa ebisomesebwa n’ensoma y’abayizi mu Uganda, okuviira ddala mu Primary okutuuka ku University.
Yasooka kugezesebwa ku mutendera gwa Secondary O’level era nga kati ewezezza emyaka 6.
Abayizi abaatandika nayo bali mu S.6 banaatera okwesogga University.
Dr.Vincent Ssembatya avunaanyizibwa kukulondoola omutindo gw’ebisomesebwa mu matendekero agawaggu, agambye nti amasomo agawera 700 gebatandikiddeko, era nga bagala omwezi gwa August 2027 wegunaatuukira ng’amasomo gonna agasoba mu 4000 gaweddeyo okwekennenyezebwa.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis









