Government ya Uganda ekkirizza okusasula ensako y’abasawo bonna abakyagezesebwa abamanyiddwa nga Medical Interns, akakadde ka shs kamubuli mwezi.
Gyebuvuddeko olukiiko lwa baminister lwasalawo nti government ba medical intern bokka beyambako mu kusoma ku matendekero bokka beeba esasula ensako nr mu malwaliro gyebageserezebwa ,olwo abayizi abesasulira government ebasulire emmere y’ekyemisana yokka, ekyasikuula emeeme za bayizi bano abamu nebasalawo okwekalakaasa.
Wabula Minister w’ebyobulamu Dr.Chris Baryomunsi asinzidde mu parliament nategeeza nti Cabinent yekyusizza kakano esazeewo okuwa abayizi bonna abagezesebwa obusawo akakadde ka shs kamu awatali kwawulamu.
Omugatte balina kufuna shs 1,268,929, bwokuvaayo omusolo, basigazaawo akakadde kamu.
Kunsonga ya bayizi 8 abakwatibwa nga bekalakasa olwa government okugaana okubawa ensako wabula nga bayimbuddwa ku kakalu ka Kooti okuvannyuma lw’ennaku 3 mu kkomera, Minister Baryomunsi ategezeezza nti wakukwatagana ne Ssaabawaabi wa government saako Police wabeewo ekikolebwa ku misango egibavunaanibwa.
Mumbeera yeemu gavumenti eyongezaayo nsalesale gweyawa ba Medical intern okugenda mu malwaliro okutandika okugezesebwa, yali wa 14 August, kati ejjuluddwa okutuuka ku Friday nga 21 August,2026.
Wabula Minisita Baryomunsi alabudde abadukanya Amalwaliro abalekera ba Intern obuvunayizibwa bwonna okukomya bunnambiro.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius











