Ebibiina by’obufuzi okuli Alliance for National Transformation ANT ne National Unity Platform NUP byakusigala nga tebifuna nsimbi government zeewa ebibiina by’obufuzi ebirina ababaka mu parliament, okutuusa ng’olukiiko olwoku ntikko olufuga omukago gwa IPOD lutudde neruyingiza ebibiina bino mu IPOD mu butongole.
Ebibiina byobufuzi okuli NRM, UPC, FDC ne DP byafunye ensimbi okuva eri akakiiko k’ebyokulonda, nga zino z’ezettundutundu ly’omwaka gw’ebyensimbi guno 2026/2027 eryasoose.
Obuwumbi 11 n’obukadde 250 zezaabadde zirina okuweebwa ebibiina byonna, wabula NUP ne Alliance for National Transformation tezaafunye zaazo, kubanga teziyingizibwa nga mu mukago gwa IPOD mu bitongole
NRM yafunyeeko obuwumbi 9 nekitundu olw’ababaka 372 beerina mu parliament, UPC yafunye obukadde 300 olw’ababaka 12 beerina, FDC yafunye obukadde 225 olw’ababaka 9 ekibiina kino bekirina songa ekibiina ki DP kyafunye obukadde 150.
NUP yabadde erina okufuna akawumbi kamu nÓbukadde 200 olw’ababaka 48 beerina mu parliament, Alliance for National Transformation (ANT )kyabadde kyakufuna obukadde 25 olwomubaka omu ekibiina kino gwekirina.
Wabula NUP ne ANT tebyaweereddwa mutemwa gwabyo, olw’ensonga nti olukiiko olwoku ntikko olufuga IPOD olwa IPOD summit terunatuula okukkiriza okuyingiza ebibiina ebyo wadde byateekayo kkusaba kwabyo.
IPOD Summit etuulako ebibiina byobufuzi ebirina obwa memba mu IPOD.
Ensonda zibuulidde radio Eno, nti ensimbi akawumbi 1 nobukadde 200 ezaalina okuweebwa NUP nobukadde 25 ezaalina okufunibwa ANT zikyaali mu kakiiko kebyokulonda okutuusa nga olukiiko lwa IPOD summit lutudde nerusalawo ku nsonga z’ebibiina ebyo ebibiri.
Olukiiko lwa IPOD summit olwali lusuubirwa okutuula mu Juky 2026 lwayimirizibwa oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga era ssentebbe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni obutalaga lunnaku lwanabaawo, olw’emirimu gy’eggwanga.
Mu kiseera kino DP yekulembera omukago gwa IPOD.
Abakulembeze ba DP okuli president waayo Nobert Mao yakulembera IPOD summit, ate Ssawandiisi wa DP Gerald Siranda akulembera IPOD council.
Wabula bakyalindiridde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alage olunaku lw’anabaawo, olwo balyooke balangirire ensisinkano ya IPOD summit, okusalawo ensonga y’ebibiina; ANT ne NUP okwegatta ku IPOD bitandiike nabyo okufuna ku nsimbi.
Ensonda zibuulidde CBS, nti ewatali nsisiinkano ya IPOD summit eno ebibiina ebyo ANT ne NUP SSI byakufuna yadde ennusu.
Mu mwaka 2025, parliament yayisa ennoongosereza mu tteeka erifuga ebibiina by’obufuzi mu ggwanga, nesaawo obukwakkulizo, nti ebibiina byokka ebirina obwa memba mu mukago gwa IPOD byebikkirizibwa okufuna ensimbi government zeewa ebibiina byobufuzi okubiyimirizaawo.
NUP mu kusooka yali egaanyi okwegatta ku IPOD ng’egamba nti terina mulamwa, wabula oluvannyuma lw’okuleeta etteeka eppya yekyuusa neesaba okwegata ku IPOd okufuna ensimbi ezo.
Ssabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya akukukulumye nti babakandiiriza nnyo okuyingizibwa mu IPOd, era neyekokkola etteeka eppya okubanyigiriza ennyo ng’ekibiina.#









