Ttiimu y’essaza Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2026, nga Kyadondo egirumbye omwayo e Masaka n’egikubirayo goolo 1-0.
Goolo eteebeddwa Enock Ssekatawa mu kitundu ekisooka.
Wabula wadde bagikubye Buddu esigadde ekulembedde ekibinja Bulange, n’obubonero 17 ate Kyadondo esigaddewo mu kifo eky’okusatu n’obubonero 13.
Mu kibinja kye kimu Bulange, Buweekula ekubye Buvuma goolo 2-1 e Mubende.
Busujju ekubye Buluuli goolo 1-0 e Kakindu.
Mu kibinja Masengere, Kyaggwe eyongedde okwenywereza ku ntiko y’ekibinja bwerumbye Busiro omwayo e Nabbingo n’egikubirayo goolo 1-0.
Mawokota nayo etaangaziza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja bwekubye Bulemeezi goolo 4-0 e Buwama.
Mu kibinja Muganzirwazza, Butambala esigadde ekulembedde ekibinja kino n’obubonero 15, wadde egudde maliri ne Ssingo goolo 1-1 e Mityana.
Kkooki ekubye Mawogola goolo 2-1 e Kyotera.
Bugerere ekubye Kabula goolo 1-0 e Ntenjeru.
Gomba nayo yalumbye Ssese omwayo n’egikubirayo goolo 2-1.
Mu kiseera kino buli ssaza lisigaza emipiira 2 okuggalawo omutendera gw’ebibinja.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe









