Obwakabaka bwa Buganda busabye abayimbi ne bannabitone ebyenjawulo okwongera okussa essira ku bubaka obuzzaamu abantu essuubi era obuyigiriza, nga tebannalowooza ku kufunamu nsimbi zokka.
Abadde asisinkanye munnabitone era Omuyimbi Veronica Nakiyinji amanyiddwa ennyo nga Vinka eyeetegekera ekivulu kye nga 21.8.2026 ku Lugogo Cricket Oval, ng’ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asomoozezza abayimbi abalowooleza mu mateeka agabaluηamya gokka,kyokka nga tebalowoozezza ku kinyusi kya nnyimba zebayimba, n’okwongera okuyiiya ebyensonga, nti bakusigalira emabega.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza Omuyimbi Vinka olwÓkuyimba ennyimba ennungi, ezisobola okuwulirwa ne mu mawanga amalala.
Minister wÁbavubuka Ebyemizannyo nÉbitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga ng’akiikiriddwa Minister wÉbyobulamu , ebyenjigiriza ne yafeesi ya Nnaabagereka owek Chotilda Nakate Kikomeko, naye yebazizza Vinka olwÓkubeera Omuyimbi eyegombesa, era ayagala Olulimi lwe Oluganda ate nga mukozi.
Muzzukulu wa Lwomwa Veronica Nakiyinji yebazizza bazzukulu ba Kintu abettanira Ennyimbaze, era abasabye okumuwagira ku Friday nga 21 August,2026 ku Lugogo Cricket Oval.
Bisakiddwa: Kato Denis








