
Obuganda buyozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okuweza emyaka 33 nga ali ku Nnamulondo alamula Obuganda mu Ssanyu.
Obuganda buyozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okuweza emyaka 33 ng’ali ku Nnamulondo alamula Obuganda.
Amatikkira g’omwaka guno gatambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Tubeere bavumu mu kukuuma Obuwangwa bwaffe”
Sseggwanga Musota yatuula ku Nnamulondo ya bajajjabe nga 31 July,1993.

Emikolo emukulu egy’okujaguza emyaka 33 egy’amatikkira giyindidde ku kanisa ya Watoto Church e Bweyogerere mu Kyadondo, ewabadde okusaba okusaba okwenjawulo n’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’Empologoma ya Buganda.
Bw’abadde ayogerako eri Abantu b’Omutanda abakuηaanidde ku Watoto ministries e Bweyogerere, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Nnamunswa olw’Okuzza Obuwangwa n’Ennono, nga ayita mu miramwa egyenjawulo.
Katikkiro yebazizza Ssemunywa olw’okunnyikiza Obuwangwa mu Bwakabakabwe, mu ngeri eyenjawulo neyeebaza president Museveni olw’okuba omusaale mu kuzzaawo Obwakabaka.
Katikkiro agambye nti emyaka 33 gibadde gya bibala.
“Emyaka 33tegibadde gya kyeya. Ekibala ekisinze obunene kwekunnyikiza Obuwangwa bwaffe, era Kabaka ategeerwa mu Uganda n’ebweru, mu bato n’abakulu. Awo nno mbasaba tubeere bavumu mu kulwanirira obuwangwa bwaffe” – Katikkiro Mayiga

Katikkiro akkaatirizza nti Obuwangwa y’endowooza oba enzikiriza abantu gyebataputamu ebiba bibeetolodde, byonna byetaaga buvumu, nti naye obuvumu tekitegeeza kulwana oba kuvuma balala, wabula okunywerera ku kituufu.
Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ng’akiikiriddwa Ssaabamimister wa Uganda Robinah Nabbanja, ayozaayozezza nnyo Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku Kkula ly’emyaka 33 ku Nnamulondo,era naamwebaza olw’amaanyi gaatadde mu kutumbula ebyenfuna by’abantube, Ebyobulamu n’enteekateeka endala nnyingi.
President aweerezza ensimbi obukadde 40 ku nteekateeka y’amatikkira.

Pastor Garry Skinner omutandisi wa Watoto Church mu Uganda, agambye nti Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kirabo ekyava eri Katonda, namweebaza olwobumu bwasize mu Bantu bonna awatali kusosola.
Akulira Ekkanisa ya Watoto mu Uganda Senior Pastor Julius Rwotlonyo , yebazizza Omuteregga olw’okwagala okungi kwalina eri abantu be.

Watoto Church ewaddeyo amakula ga bukadde bwa shs 38,buyambeko mu kuggusa Omulimu gw’Eddwaliro lya Buganda eriseyeeyeza ku mazzi ,erinayambako abantu mu Bizinga Okufuna obujjanjabi.

Omukolo guno gwetabiddwaako Nnaabagereka Sylivia Naginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga,Abalangira n’Abambejja, bakatikkiro abaawummula, abamyuuka ba Katikkiro okubadde Owek Prof Twaha Kawaase Kigongo n’Owek Robert Wagwa Nsibirwa, ba minister ba Kabaka, Abaami b’Amasaza, bannaddiini, ba ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka, ababaka mu parliament, Abaana b’Amasomero n’Abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis












