President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni ayagala wassibwewo enkolagana ey’omuggundu wakati wa Uganda ne Bungereza mu byobulamu, mu kunoonyereza n’okukola eddagala nti kijja kuyamba mukutangira n’okujjanjjaba eddwadde mu bwangu.
President Agamba nti Bungereza erina obukugu obumala mu bintu ebisinga obungi, kale nga Uganda okukolagana nayo, kyakuyamba okumalawo ebisomooza Uganda ku by’endwadde ezitawaanya bannansi.
Abyogeredde mu maka gwobwa President Entebbe bw’abadde asisinkanye bakungo abavudde e Bungereza, nga bakulembeddwamu omubaka wa Uganda mu Bungereza Amb. Nimisha Madhvani ne ssentebe wa UK Parliamentary Group Beccy Cooper.
President ategezeza nti Uganda erina eddwadde ezisomooza abantu eziwerako kale nga betaaga okuzitangira nga bukyali, sso bwebakwatagana n’abakugu mu byobulamu okuva e Bungereza basobola okukolera awamu okuzirwanyisa
Gen Museveni agambye nti bagezaako okuwanyisiganya ba Doctor okulaba nga bassa amaanyi ku kulwanyisa eddwadde nga tezinakwata bantu era bakuvugirira enteekateeka eno.
Museveni bano ababulidde nti government ye ensangi zino etadde amaanyi mu ddagala ly’ekinnansi n’okulinoonyerezako okuzuula erisobola okuwoonya eddwadde ezitali zimu.
Agambye nti naye bweyali akyasoma yakwatibwako obulwadde bwa smallpox era omusawo okuva e Bungereza yeyamuwonya , kale kwekubasaba okukiriza bakolagane ne Uganda.
Hon Cooper Beccy yebazizza obukulembeze bwa Uganda naddala mukulwanyisa eddwadde nga Ebola.
Minister we byobulamu ebisookerwako Dr. Charles Ayume agambye nti bannauganda 970 baawebwa emirimu mu Bungereza era baweereza bulungi.












