Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atemye evvuunike ly’Okuzimba ekisaawe gaggadde eky’Essaza Buddu, ekituumiddwa Kabaka Daudi Chwa II oEACOP stadium.
Ekisaawe kino kigenda okuzimbibwa ku Mbuga y’Essaza Buddu mu Kibuga Masaka nga Kiri ku bugazi bwa yiika 10.
Okutandika okuziimba ekisaawe kino kye kimu ku bikujjuko by’Okujaguza okujjukira amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’Omulundi ogwa 33.
Amatikkira gano gakubaawo nga 31 July,2026 ku kkanisa ya Watoto ministries e Bweyogerere.
Katikkiro yebazizza Kampuni egenda okutambuza omudumu gw’Amafuta eya East African Crude Oil Pipeline olw’enkolagana ennungi n’Obwakabaka , egenda okukyuusa ekifaananyi ky’Essaza Buddu.

Ekisaawe kino kigenda kuzimbibwa Kampuni ya Ocean teach holdings limited nga kigenda kuzimbibwa mu mitendera essatu.
Akulira Kampuni ya Ocean teach holdings limited, Oscar Asiimwe ategeezezza nti bakwetegereza nnyo entekateeka omuli okukuuma Obutondebwensi, n’Okufunira Abavubuka emirimu gy’Ekikugu neegitali gya kikugu.
Ekisaawe kino kisuubirwa okutuuza abantu Omutwalo gumu, kigenda kubaako awasimbwa Mmotoka neebidduka ebirala, ebifo omuzannyigwa emizannyo gyomunda nga tennis, basket ball n’emirala.
Bisakiddwa: Kato Denis













