Government ya Uganda erangiridde bulungi bwansi okwetoola eggwanga lyonna, ng’agenda kubeerangawo buli lwamukaaga olusemba mu mwezi
Government egamba nti enkola eno eyokuyonja ebitundu yakuyambako okukendeeza ku ndwadde eziva ku bukyafu.
Bulungi bwansi atongozeddwa wakumalanga essaawa ssatu, okuva ku ssaawa 1 okutuuka ku nnya ezokumakya.
Bulungi bwansi ono atongozeddwa Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja ku wofiisi ye mu Kampala.
Agambye nti bulungi bwansi ono siwakyeyagalire era bannauganda bonna balina okumwenyigiramu okuyonja ebitundu gyebabeera nga buli omu abeerako nekyakola.
Mu ssaawa ezo esatu, abantu n’emmotoka sizaakumalanga gatambula, okuggyako ezo ezikola emirimu egitaliinda.
Business zonna sizakukkirizibwanga kuggulawo mu ssaawa ezo, kubqnga abantu bonna balina kubeeranga mu bitundu mwebabeera nga bagogola n’okulongoosa ebitundu byabwe.
Ssaabaminister asabye abantu bonna okwetegekeranga ennaku ezo, waleme kubeerawo bakwatibwa mu butamanya.
Minister w’ebyobulamu Dr. Chris Baryomunsi alabudde bannauganda obutesisiggiriza ku Bulungi bwansi ono, nti kubanga agenderedde okulwanyisa endwadde eziva ku bukyafu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius













