Ekibiina ki Alliance For National Transformation kikyusizza obukulembeze bw’akyo ,era balonze abakulembeze abaggya abagenda okutwala ekibiina kino maaso
Eyaliko omubaka wa Arua Minicipality Kasiano Wadri yalondedwa nga omukulembeze w’ekibiina kino omuggya aze mu bigere bya Mugisha Muntu.
Alice Aloso asigadde ye Ssaabawandiisi w’ekibiina kino,ate nga omwogezi ye Ismail Kasule omubaka ekibiina kino gwekirina yekka mu parliament ya Uganda
Mugisha muntu ye aweereddwa ekifo ky’omukulembeze omusukkulumu agenda okukulemberamu okuzimba ekibiina mu ggwanga lyonna.
Ekibiina kino ki Alliance For National Transformation kyatandikibwaawo mu March 2019 nekitongozebwa mu May omwaka gwegumu.
Kikyusizza obukulembeze bwakyo omulundi ogusoose nga 22 July, 2026 oluvannyuma lw’emyaka 7.
Bwabade awaayo obukulembeze bw’ekibiina kino Gen Mugisha Muntu awanjagide abakulembeze abalondeddwa okukolagana n’ebibiina ebirala okulwanirira eddembe mu ggwanga.
Muntu agambye nti mu ggwanga eddembe ly’obuntu lityobooddwa nnyo, naye abantu bangi bafuuse kyesirikidde.
Muntu awanjagide banna Uganda okukozesa eddoboozi ery’omwanguka okuvumirira ebikolwa byonna ebimenya amateeka mu ggwanga lino, n’ebityoboola ne ssemateeka wa Uganda.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











