Obwakabaka bwa Buganda butongozza empaka z’omuzannyo gwa Badminton ezigenda okuzannyibwa ng’ebimu ku bikujjuko eby’okukuza Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwensa Mutebi II ag’omulundi ogwa 33 agagenda okukuzibwa nga 31 July,2026.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga ng’ali wamu n’abakulembeze abatwala omuzannyo gwa Badminton mu Uganda, batongozza empaka zino ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Empaka za Badminton eza Matikkira ga Ssabasajja zigenda kubeera za mulundi gwa 2 nga zitegekebwa, era ez’omwaka guno 2026 zigenda kuzannyibwa okuva nga 17 okutuuka nga 19 July, ku CFK Badminton Academy Kisaasi.
Owek Ssalongo Robert Sserwanga akinogaanyizza nti waliwo n’emizannyo emirala mingi egigenda okuzannyibwa mu kukuza amatikkira ga Kabaka, okuli n’omuzannyo ogw’okusika omugwa, nga gugenda kubeera ku bisaawe emipiira gy’Amasaza gyegigenda okuzannyibwa nga 18 ne 19 July, bweginaaba giwumuddemu ekitundu ekisooka.
Owek Ssalongo Robert Sserwanga era akakasizza nti emipiira gy’Amasaza gyonna egyo nga gigenda okutandika, wakusookawo okusirikirira okujjukira amatikkira ga Kabaka.

Simon Mugabi akulira eby’emirimu mu kibiina ekitwala omuzannyo gwa Badminton mu Uganda, agambye nti mu kiseera kino abazannyi 450 bamaze okwewandisa okuvuganya mu mpaka za Badminton ez’okujjukira amatikkira ga Kabaka, kyokka basuubira omuwendo guno okulinnya okutuuka ku bazannyi 800.
Amatikkira ga Kabaka aga 33 gatambulira ku mulamwa ogugamba nti Tubeere bavumu mu kulwanirira obuwangwa bwaffe, era ng’emikolo emikulu giri ku Watoto Church e Bweyogerere.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













