Olukiiko oluddukanya empaka z’Amaato mu Bwakabaka bwa Buganda, zikakasizza nti Omwetoloolo ogusooka ogw’empaka zino gugenda kubeerawo ku lw’omukaaga luno nga 27 June,2026.
Empaka zino zigenda kubeera Nakiwogo e Ntebe mu ssaza Busiro.
Fayinolo y’empaka z’amaato yakubeerawo nga 22 June,2026 e Bunjakko mu ssaza Mawokota.
Olukiiko oluteekateeka empaka zino nga lukulembeddwamu Batenga Nakisozi akulira ebyemirimu egy’ekikugu ku lukiiko oluteekateeka empaka zino, lulambudde omwalo gwe Nakiwogo okulaba enteekateeka nga bwezinaabeera.
Amasaza gonna 18 gagenda kuvuganya mu mpaka zino.
Mu 2024 empaka z’amaato lwe zibadde zaasemba okutegekebwa, zaawangulwa Busiro mu mita 500 ate Mawokota newangula mu mita 1000.
Bisakiddwa: Isa Kimbugwe











