Akakiiko keby`okulonda mu ggwanga ka Electoral Commission of Uganda kalangiridde okulonda kwaba ssentebe b’ebyalo kwakubeerawo nga 28th July ab’akakiiko ka L.C 1, ate aba L.C II bakulondebwa nga 10 August,2026
Ssentebe w’akakiiko keby`okulonda mu ggwanga Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama yaalangiridde okulonda kuno, nategeeza nti kugenda kubeera kwakusimba mu mugongo.
Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama ategezezza nti abegwanyiza okwesimbawo ku bwa ssentebbe bw’ekyalo bagenda kwewandiisa wakaati w’ennaku z’omwezi 9th ne 14th July,2026.
Okusunsulamu kwakubeerawo wakati w’ennaku z`omwezi 15th ne 19th July, ate okunoonya akalulu kwakubeerawo wakati w’ennaku z`omwezi 20th ne 27th July,2026.
Okulonda kwakubeerawo nga 28th omwezi gw`omusanvu era nga kwakusimba mu mugongo.

Akakiiko keby`okulonda kategeezezza nti olukiiko lw’ekyalo lugenda kubeerako abantu 11, era abagala okwesimbayo batekeddwa okubeera n’ebisanyizo omuli okubeera abatuuze b’ekyalo, okuba n’emyaka 18 n`okudda waggulu, okubeera mu regester y’ekyalo, okuba abatuuze ba Uganda, wamu n`okuba omutuuze mu kyalo kwoyagala okwesimbawo.
Abagala obukulembeze bw’ekyalo bakirizibwa okuvuganyiza mu bibiina byeby`obufuzi byabwe, obuyigirize sibwakwesigamizibwako, era abagala okwesimbawo sibakusasulayo nnusu n’emu.
Okunoonya akalulu nga kutandiise kwakubeerawo wakati w’essaawa emu ey`okumakya ne kumi ez’akawungeezi, era buli eyesimbyewo akalulu wakukanoonya mu kyalo kye kyokka ky’ayagala okukulembera.
Olukiiko lwekyalo lugenda kuberaako abantu 11, ng’abegenda okwesimbawo bali mukaaga, olwo abataano abasigaddewo okuli omumyuka wa ssentebe, omuwandiisi, ow’amawulire, oweby`okwerinda, balondebwe ssentebe ku lunaku olwo lwenyini ng`okulonda kwakakomerezebwa.
Abantu bano abataano ssentebe bagenda okulonda balina okusembebwa olukiiko lw’ekyalo olulondedwa okuyita mu kalulu wamu n’abatuuze bekyalo kubanga alina okululonda nga bakyaliwo.
Abatuuze b’ekyalo bokka bebagenda okulonda, era abatali mu regester yekyalo sibakukirizibwa kulonda.
Abakulembeze b’ekyalo abaliko mu kiseera kino bwebaba bagala okuddamu okwesimbawo, balagiddwa okulekulira mu bwanguddala, kubanga etteeka libalagira okuwaayo office nga wakyabulayo ennaku 30 okutuuka ku lunaku lw`okulonda.
Bisakiddwa: Musisi John











