Olukiiko olufuzi olwa Radio Buganda, Central Broadcasting Services CBS FM lweyanzizza nnyo Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Ii olw’okutandikawo radio eno, ekyusizza obulamu n’ebyenfuna by’abantu be.
Olwa leero nga 22 June,2026 CBS ewezezza emyaka 30 beddu ng’eweereza mu by’empuliziganya.
CBS yagenda ku mayengo g’ebyempuliziganya nga 22 June,1996, era nga mu kiseera kino erina emikutu 2 okuli ogwa 88.8 ne 89.2.

Ssentebe wa Boodi ya CBS Omuk. David Bbaalaaka ayanjudde omulamwa CBS kwegenda okutambulira emyaka egiddako, ogugamba nti Okusukka ku buweereza bwokumpewo,obuwangwa, abantu n’ebyenfuna.
Omukungu Bbaalaaka ayogedde ku bituukiddwako mu myaka 30, CBS ng’eddooboozi lya Buganda nga likulemberamu okukunga abantu okwenyigira mu nkulaakulana ez’enjawulo, omuli;
-Okuzzaawo amasiro g’e Kasubi
-Okuzimba ekizimbe Masengere
-Tegula project eyali ey’okuzzaawo akasolya ka lutikko ye Namirembe
-Okuziimba ekifo ewajjanjabibwa abagudde ku kabenje mu ddwaliro e Nkozi
-Okutandikawo ebittavvu bya CBS PEWOSA Abantu mwebayita okutereka n’okwewola.
-Okutandikawo amasomero ku ttaka eriweebwa Abazira mu Bazira b’Entanda ya Buganda
-Okuvujjirira empaka z’amasaza ga Buganda
-Okuvujjirira empaka z’ebika by’abaganda n’ebirala
Omuk.Bbaalaka ayanjudde ensonga 4 ezigenda okuyitibwamu okwongera okuzza essuubi mu bantu ba Kabaka
-Okubangula n’okuzzaamu amaanyi abawuliriza
-Okunyweza Obwasseruganda mu bantu abaweerezebwa
-Okukuuma,okutumbula n’okutuusa obuwangwa ku mujiji oguddako
-Okutondawo emikisa gy’enkulaakulana mu byenfuna by’abantu ba Kabaka

Ssenkulu wa CBS Omuk.Micheal Kawooya Mwebe agambye nti kati mu myaka egijja essira ligenda kussibwa ku nkola ya CBS mu Kibatu, egenda okuyitibwamu ng’abantu basobola okufuna obuweereza bwa CBS buli wamu nga bayita ku ssimu zabwe mu nkola eya Digital.











