Ministry y’Ebyentambula erangiridde nti eri mu nteekateeka essaawo enkola ey’okukuba ebipapula by’engassi eri bannyini Mmotoka ezimenya amateeka g’okunguudo, mu kifo ky’okubikuba ba ddereeva bokka, mu kaweefube w’okukendeeza Obulagajjavu obuvaako obubenje omufiira banna Uganda.
Bwabadde asisinkanye abakulembeze ba Mmotoka ezisaabaza abantu omuli Bus ,Taxi n’Emmotoka ezobwananyini mu Kampala , commissioner mu ministry y’Ebyentambula Winstone Katushabe agambye nti waliwo emmotoka nnyingi nga ba ddereeva baazo ebipapula ebibakubiddwa bingi ddala, wabula nga zikyali ku kkubo zitambula awatala kusasula kipapula kyonna. Agambye nti singa ebipapula bino babikuba ba ddereeva ne ba nnyini mmotoka, kigenda kubawa obuvunaanyizibwa okumanya abagoba ba Mmotoka zabwe byebakola bazirondoole.
Katushabe agambye nti amateeka amalala agagenda okukola ku bagoba ba Mmotoka abatagoberera nkola ntuufu , mulimu okukuba Engombe okwekyeyonoonero, mu bifo omuli Amalwaliro, Amasinzizo, Amasomero n’ebifo ebirala abinaayongerwamu gyebujja.
Mu mbeera yeemu Katushabe ategeezezza nti waliwo obwetaavu bw’Okuteeka ebitaala ebikolera ku tekinologiya wa AI, asobola okuyambako mu kuluηηamya entambula y’ebidduka.
Norman Musinga okuva mu kitongole kya police y’ebidduka, alabudde abagoba b’ebidduka abalowooza nti okubawa Ebipapula tekugenda kugonjoola bizibu bya ku kkubo, agambye nti police tegenda kulekeraawo kubawa bipapula, era nga kati bigenda kufuuka byambagirawo ng’omuntu amenye amateeka kimukakatako okusasula engassi eyo balyoke ba
Muhammed Ssempijja omu ku bakulembeze ba Taxi mu ggwanga agambye nti okukuba banyini Mmotoka ebipapula tekisaanye, naasaba ebibonerezo bikolebwe ku bagoba baazo abakola Obubenje, oluvannyuma lw’o kumenya Amateeka.
Bisakiddwa: Kato Denis











