President w’ekibiina ki People’s Front for Freedom era ng’abadde Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago awambiddwa okuva mu makaage agasangibwa e Wakaliga olwa leero nga 15 June,2026.
Lukwago awambiddwa abasajja ababadde bambadde ebyambalo by’abasirikale nga bambadde obukookolo, ng’obudde bwakasaasaana.
Wabula Omwogezi wa Police Kituuma Rusoke agambye nti abadde naye tanamanya Bawambye Lukwago, wadde okumanya gyatwaliddwa.
Banna mateeka Ssalongo Erias Lukwago ,batandise omuyigo ku kifo ekituufu omuntu wabwe gyatwaliddwa okumanya embeera gyalimu neekimukwasizza
Bakulembeddwamu munnamateeka Medard Lubega Ssegona,bagamba nti tebagenda kutuula okutuusa nga bategedde ekifo omuntu wabwe gyebamututte
Ssegona agambye nti ebikolwa eby’okuwambira abantu ku mudumu gwe mundu bikolwa ebityobooola ssemateeka wa Uganda naddala ku muntu atali mutujju.
Ssegona agambye nti ebikolwa ebyokuwamba abantu bikolwa ebisiga obukyaayi.
Asabye banna byabufuzi okwogeza eddoboozi limu ku bikolwa bino osaanga ababikola baneddako
Nalongo Zawedde Lukwago mukyala wa ssalongo Erias Lukwago ategezezza banna mawulire nti bukyanga bba abeera mu byabufuzi abadde talabangako bikolwa byabukambwe ebibatuusiddwako, ng’abakwaata mundu bamenye enzigyi z’ennyumba nebayingira munda nebasikawo bba.
Mu lukuηaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kya PFF ku Katonga Road mu Kampala,abakulembeze ba PFF bagamba nti okuwamba abantu mu ggwanga kulina okuvumirirwa n’okuyimirizibwa mbagirawo.
Amyuka omukulembze w’ekibiina kino Dr. Phillip Lulume Bayiga agambye nti okulumba amaka g’abavuganya government nebawambibwa mu bukambwe obwekitalo kikolwa kyakulinyirira ddembe ly’abuntu.
Bayiga agambye nti ebikolwa bino ebyokuwamba byaliwo mu mirembe egyayita, era tebetaaga kuddamu kulabwako mu ggwanga ng’omuntu abuzibwawo.
Lulume mungeri yeemu awanjagide ebitongole ebirwanirizi by’eddembe ly’obuntu okusitukiramu ku bikolwa nga bino ne parliament ya Uganda ebeeko nekyekola mu bwangu ku kiwamba bantu.#












