Empaka.z’amasaza.ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka 2026 zigguddwawo, Buweekula ne Kyadondo nga tewali alabye katimba ka munne.
Ttiimu ya Kyadondo esinzizza ku Buweekula emikisa egiteeba kyokka tegivuddemu kalungi.
Omupiira oguggulawo gunyumidde ku kisaawe kya Mubende NTC, era nga gwetabiddwako nnamungi w’abantu.

Tiimu zombiriri Buweekula ne Kyadondo ziri mu kibinja kyekimu Masengere ,era mu 2008 Kyaddondo yaliko nantameggwa, ate mu 2025 Buweekula netwala ekikopo kino.

Kalule Trevor Captain wa tiimu ya Kyadondo y’alondeddwa okuba omuzannyi woolunaku, nga Joseph Masembe ye Ddiifiri alamudde Omupiira guno.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yaguddewo empaka z’amasaza 2026, era yebazizza abazannyi ba tiimu zombi olw’empisa ennungi ezooleseddwa.
Minister w’Abavubuka ,eby’Emizannyo Ssalongo Robert Sserwanga agambye nti embeera ebadde ku kisaawe Kya Mubende NTC ebadde ya bbugumu ,olw’Obuwagizi obuvudde mu Banna Buweekula, naabasaba okusigala nga bawagira abazannyi bwabwe.

Ssentebe w’Olukiiko olutesiteesi lw’Empaka z’Amasaza Hajji Sulaiman Ssejjengo, agambye nti Okulemagana kwa tiimu zombiriri kabonero akooleka nti tiimu zonna zirina amaanyi.
Akulira enzirukanya y’Emirimu ku Radio ya Beene CBS evujjirira Empaka zino, Omuk Robert Kasozi ,agambye nti Radio ya Beene egenda kusigala nga ewaayo Obudde okumanyisa abantu ba Kabaka ebigenda mu maaso ku mpaka zino.
Omwami wa Ssaabasajja ow’essaza Buweekula Luweekula Andrew Ssempijja , agambye nti eno ntandikwa, naagumya abawagizi ba Buweekula obutaggwaamu maanyi.
Kaggo Ssalongo Ahmad Magandaazi ,yebazizza abazannyi be Okukozesa Obumu nebalemesa Buweekula, kyokka naalabula buli abadde agaya Tiimu ye nti yeesibe bbiri.

Empaka zino ziwagiddwa Airtel Uganda omuvujjirizi Omukulu nga ekiikiriddwa Arthur Balunywa, Centenary Bank, CBS Radio ya Kabaka, BBS Terefayina,Plascon n’abalala.
Bisakiddwa: Kato Denis













