Omulamuzi wa kkooti ku City Hall mu Kampala Edgar Karakire asindise ku alimanda abasajja abagambibwa okukkakana ku Sydney Gongodyo nebamukuba nebamutta nga baamuteebereza okubba akasawo k’omukazi.
Abasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23 June,2026.
Abavunaanibwa tebakkiriziddwa kwogera kigambo kyonna, kubanga omusango ogubasomeddwa munene guwulirwa kkooti enkulu.
Sydney Gongodyo yali muzannyi wa Rugby ku ttiimu y’eggwanga, nga kigambibwa nti olunaku lweyattibwa, camera zaamulaga nga yali atambula ku kkubo e Bukoto mu Kampala, newabaawo abasajja abaali batambulira ku bodaboda nga bagezaako okubba akasawo k’omukazi.
Kigambibwa nti Omukazi bweyawoggana abantu abajja okumudduukirira baggukira ku Gongodyo nebatandika okumukuba okutuusa lwebaamutta, awatali kusooka kumuwuliriza.#












