Parliament ekkirizza government okwewola ensimbi obuwumbi bwa Uganda 730 okuva mu CITI bank n’ekitongole kya Bungereza ki UK Export Finance nga zakukozesebwa mu mutendera ogwokubiri ogw’okutumbula okulima okwesigamiziddwa kukufukirira ebirime.
Ebifo 434 ebifukirira mu district ezirima emmwaanyi byebigenda okuzimbibwa mu nsimbi zino ezigenda okwewolebwa, nga byakuzimbibwa mu districts 120.
Buli emu egenda kuweebwa irrigation schemes 3 eri abalimi abalina ennimiro ennene ez’emmwaanyi okubayambako okufukirira naddala mu kiseera kyekyeya
Minister w’ebyensimbi Henry Musaasizi bw’abadde ayanjulira parliament okusaba kwa government okwewola ensimbi zino obuwumbi 730, bwe bukadde bwa eauro za bulaaya 169, agambye nti olwenkyukakyuka mu mbeera yobudde, abalimi bangi bazze bakosebwa nga betaaga okukwatirako bafukirire ebirime byabwe.
Ezimu ku district ezigenda okuganyulwa mu nteekateeka eno kuliko Masaka ,Lwengo, Ssebambabule ,Luweero, Lyatonde, Kyoteta, Mukono, Nakaseke ,Mubende, Mityana, Kassanda, Rakai, Buvuma, Kalangala, Buikwe, Kiboga, Kyankwanzi ,Kayunga, Kalungu, Gomba, Butambala.
Ebitundu bya Uganda ebirala kuliko Ankore ,Kigezi, West Nile, Lango, Acholi, Bugishu, Busoga nebirala
Obutafanaanako n’okusaba kwa government okulala ng’eyagala okwewola, kwezze etwala eri parliament, nekuzzibwa mu kakiiko ka parliament akekeneenya amabanja g’eggwanga, okw’omulundi kwanjuddwa mu parliamemt eyawamu era nekuyisibwa ewatali kwetegerezebwa kakiiko.#











